Genesis 25:29-34

29Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.

31Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”

32Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”

33 aYakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.

34Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.

Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.

Copyright information for LugEEEE